RRZ 315 Tukutendereza Yesu
Versi Version 1
1
Tukutendereza Yesu,
Yesu Oli Mwana gw'endiga:
Omusaayi gwo gunaazizza;
Nkwebaza O'Mulokozi.
2
Edda nafuba bufubi
Okufuna emirembe;
Leero mmaliridde ddala
Okweyabiza Yesu
3
Nnaababuulira abantu
Obulokozi bwonna
Obutali bwa kitundu
Obulamba obw’obuwa
4
Nnaategeezanga ebya Yesu
N’obuvumu ne sitya;
Eyanzigya mu busibe
N’okuwonya eyamponya
5
Neebaza eyannunula nze;
Eyamponya wa kisa!
Yesu ankuuma ansanyusa era
Bulijjo yeebazibwe

OK